Psalms 18

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama bwe yamuwonya abalabe be ne Sawulo.

1Nkwagala Ayi Mukama kubanga ggwe maanyi gange.

2 a Mukama lwe lwazi lwange, ky’ekigo kyange ekigumu era ye mununuzi wange,
ye Katonda wange era lwe lwazi lwange mwe neekweka;
ye ngabo yange era ye mulokozi wange ow’amaanyi, era kye kigo kyange ekinywevu.
3 bNkoowoola Mukama asaana okutenderezebwa,
era amponya eri abalabe bange.

4 cEmiguwa gy’okufa gyanneetooloola;
embuyaga ez’okusaanawo zansaanikira.
5 dEbisiba eby’amagombe byanneetooloola;
n’emitego gy’okufa ne ginjolekera.
6 eMu nnaku yange nakoowoola Mukama;
ne nkaabirira Katonda wange annyambe.
Yawulira eddoboozi lyange ng’ali mu yeekaalu ye;
omulanga gwange ne gutuuka mu matu ge.

7 fEmisingi gy’ensi ne gikankana ne giyuuguuma;
ensozi ne zinyeenyezebwa ne ziseeseetuka,
kubanga yali asunguwadde.
8 gOmukka ne gunyooka nga guva mu nnyindo ze.
Omuliro ne guva mu kamwa ke,
ne gukoleeza amanda ne gabuubuuka.
9 hYayabuluza eggulu n’akka wansi;
ebire ebikutte nga biri wansi w’ebigere bye.
10 iYeebagala kerubi n’abuuka,
Bakerubi batonde ba Katonda era babeera mu kitiibwa kye. Be balabirira Entebe ey’Obwakabaka ey’Obwakatonda.

n’aseeyeeyeza ku biwaawaatiro by’empewo.
11 kYafuula ekizikiza ekyamwetooloolanga
okuba enkuufiira ey’ebire ebijjudde amazzi.
12 lOkumasamasa okwali mu maaso ge ne kuva mu bire bye,
n’okumyansa kw’eggulu n’omuzira.
13 m Mukama yabwatuka ng’asinziira mu ggulu; oyo Ali Waggulu Ennyo yayogera;
mu kamwa ke ne muvaamu omuzira n’okumyansa kw’eggulu.
14 nYalasa obusaale bwe n’asaasaanya abalabe;
n’okumyansa okw’eggulu n’abawangula.
15 oEbiwonvu eby’omu nnyanja ne bibikkulwa
n’emisingi gy’ensi ne gyeyerula
olw’okunenya kwo Ayi Mukama
n’olw’okubwatuka kw’omukka ogw’omu nnyindo zo.

16 p Mukama yagolola omukono gwe ng’ali waggulu,
n’ankwata n’annyinyulula mu mazzi amangi.
17 qYamponya abalabe bange ab’amaanyi,
abankyawa, abo abaali bansinza amaanyi.
18 rBannumba nga ndi mu buzibu,
naye Mukama n’annyamba.
19 sN’antwala mu kifo ekigazi n’amponya,
kubanga yansanyukira nnyo.
20 t Mukama ankoledde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
ansasudde ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri.
21 uKubanga ntambulidde mu makubo ga Mukama,
ne sikola kibi eri Katonda wange.
22 vDdala ddala amateeka ga Mukama gonna ngagondedde,
era ne siva ku biragiro bye.
23Sisobyanga mu maaso ge
era nneekuuma obutayonoona.
24 wNoolwekyo, Mukama ansasudde ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era ng’ebikolwa byange ebirungi bwe biri by’alaba.

25 xEri omwesigwa weeraga ng’oli mwesigwa,
n’eri atalina musango weeraga nga tolina musango.
26 yEri abalongoofu weeraga ng’oli mulongoofu,
n’eri abakyamu weeraga ng’obasinza amagezi.
27 zOwonya abawombeefu,
naye abeegulumiza obakkakkanya.
28 aaOkoleezezza ettaala yange;
Ayi Mukama Katonda wange, ekizikiza kyange okimulisizza.
29 abBwe mbeera naawe nsobola okulumba abalabe bange;
nga ndi ne Katonda wange nsobola okuwalampa bbugwe.

30 acKatonda byonna by’akola bigolokofu;
Mukama ky’asuubiza akituukiriza;
era bwe buddukiro
bw’abo bonna abamwekwekamu.
31 adKale, ani Katonda, wabula Mukama?
Era ani Lwazi, wabula Katonda waffe?
32 aeOyo ye Katonda ampa amaanyi era aluŋŋamya ekkubo lyange.
33 afEbigere byange abinyweza ng’eby’empeewo,
n’ansobozesa okuyimirira ku ntikko z’ensozi.
34 agAnjigiriza okulwana entalo,
ne nsobola n’okuleega omutego ogw’obusaale ogw’ekikomo.
35 ahOmpadde obulokozi bwo okuba engabo yange;
era ompaniridde n’omukono gwo ogwa ddyo;
weetoowazizza n’ongulumiza.
36Ongaziyirizza ekkubo ebigere byange we biyita,
obukongovvule bwange ne butanuuka.

37 aiNagoba abalabe bange embiro,
ne mbakwata ne sidda mabega okutuusa nga mbazikirizza.
38 ajNababetenta ne batasobola na kugolokoka,
ne mbalinnyako ebigere byange.
39Ompadde amaanyi ag’okulwana;
abalabe bange ne banvuunamira.
40 akOkyusizza abalabe bange ne bankuba amabega ne badduka,
ne ndyoka nsanyaawo abo bonna abankyawa.
41 alBaalaajana naye tewaali yabawonya;
ne bakaabirira Mukama, naye n’atabaddamu.
42Ne mbamerengula ng’enfuufu empewo gy’efuumuula;
ne mbasammula eri ng’ebisooto by’omu luguudo.

43 amOmponyezza obulumbaganyi bw’abantu;
n’onfuula omufuzi w’amawanga.
Abantu be nnali simanyi ne bafuuka abaweereza bange.
44 anOlumpulira ne baŋŋondera,
bannamawanga ne bajugumira mu maaso gange.
45 aoBannamawanga baggwaamu omutima
ne bava mu bigo byabwe nga bakankana.
46 ap Mukama mulamu! Atenderezebwe, Olwazi lwange;
era agulumizibwe Katonda w’obulokozi bwange.
47 aqYe Katonda, asasula ku lwange abankola obubi
era akakkanya amawanga ne ngafuga.
Amponyeza abalabe bange.
48 arAyi Mukama, ongulumizizza okusinga abalabe bange,
n’onkuuma abakambwe ne batankwatako.
49 asNoolwekyo, Ayi Mukama, nnaakutenderezanga mu mawanga,
era nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo.
50 atAwa kabaka obuwanguzi obw’amaanyi,
amulaga ebyekisa emirembe gyonna oyo gwe yafukako amafuta,
eri Dawudi n’eri ezzadde lye.
Copyright information for LugEEEE